Skip to content Skip to footer

Magufuli asubiza Okunywa ssukaali wa Uganda

Bya Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga lya Tanzania, John Pombe Magufuli atuuse mu gwanga olwaleero okwetaba mu lukungaana lwabakulembeze bomukago gwamawanga gobuvanjuba olwomulundi ogwe 19th olwa Ordinary East African Community heads of state Summit olunajubwako akakwuuwo kumLwokutaano lwa wiiki enos.

Nga yakatuuka kuno, Magufuliz yevubye akafubo ne munne owakuno kamukyaza Yoweri K. Museveni mu maka gobwa presidenti Entebbe nebabaako byebegeyaamu ku nkolagana yamawanga gombi.

Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu maka gobwa presidenti, president Museveni asabye omugenyi we okwekubanga ku basubuzi mu gwanga lye erya Tanzania okugula ssukaali wa Uganda.

President Magufuli ayaniriza okusaba kwa Presidenti Museveni, kubanga kyakumalawo ebbula lya ssukaali mu gwanga lye nga waliwo omuwaatwa nobwetaavu bwa tonne emitwalo 100,000 buli mwaka.

Bano banywa ssukaali tonne emitwalo 42 songa basobola kwekolera ssukaali tonne emitwalo 32 nekirekawo emiwaatwa.

Minisita wa Uganda owensonga ze bweru Sam Kuteesa, ne munne owa Tanzania Augustine Mahiga ne Minister wakuno owabakozi Muruli Mukasa, bebamu ku betabye mu nsisinkano eno.

Leave a comment

0.0/5