
Abesimbyewo ku kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga bakusunsulibwa nga 3 ne 4 November.
Okulangirira kuno kukoleddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu.
Kiggundu agambye nti balina obuyinza okusalawo nga bwebagaala era nga tewali yabasindikirizza
Zzo ennaku z’okuwandiisibwaako ababaka ba palamenti n’abalala zisigaddewo ku nga 2 ne 3 omwezi gwa December.
Ono era asabye abeesimbyeewo abaali basasula obukadde munaana okwongerayo endala obukadde 12 oluvanyuma lw’amateeka okuyita.
Kati n’okulonda kwakuggwa ssaawa kkumi okuva ku kkumi n’emu
Okusooka akakiiko k’ebyokulonda kaali kataddewo nga 5 ne 6 omwezi guno wabula akakiiko k’ebyokulonda nekakola enkyukakyuka oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okuteeka omukono ku mateeka g’ebyokulonda nga era galina okukola mu kalulu ka 2016.
Mugamu ku mateeka agatekeddwako mulimu okujjawo abesimbyewo ku bwa pulezidenti okuweebwa obukadde 20 mu kampeyini ssaako n’okwongeza ensimbi ayagala okwesimbawo ku bubaka bwa palamenti z’alina okusasula okuva ku mitwalo 20 okudda ku bukadde 3.
Amateeka gano kuliko erikwata ku kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga ssaako n’eryababaka ba palamenti nga ddyo eryakakiiko k’ebyokulonda lyakwongera okukubaganyizibwako ebirowoozo.