
Abazungu mwenda ababadde batambulira mu nyonyi emitima gibewanise oluvanyuma lw’enyonyi eno okulemererwa omugoba waayo n’agikuba wansi
Atwala ebyentambula mu minisitule y’ebyentambula Benon Kajuna agambye nti enyonyi eno eyabise omupiira gwaayo ng’ekka.
Ababadde mu nyonyi eno bonna bavuddemu nga tebakoseddwa
Wabula tukitegeddeko nti ekifo awagwa enyonyi kijjudde binnya ng’enyonyi zisanga obuzibu nga zikka
Ekifo kino kyazimbibwa mu mwaka gwa 1971 era ng’okuva olwo tekirongoosebwa.
Enyonyi eno ebadde etambuza abazungu bano yak u kisaawe kye Kajjansi ng’ebadde etambuza abazungu ababadde bazze mu Uganda okulambula.
Enyonnyi ennaku zino zongedde okugwa nga mu gw’omunaana era waliwo enyonyi endala eyagwa mu ngeri yeemu.