
Poliisi mu disitulikiti ye Moroto ekutte omusomesa w’ettendekero ly’e Makere lwakuyikuula ntaana.
Ronald Ntenze ne banne abalala 4 basimudde amalaalo galimbo y’ekeleziya ku kyalo Kangole wamu ne pasita olwababuzizza ekibasimuza amalaalo nebategeeza nga bwebaabadde bayikuula ekyobugagga kya Mercury.
Irene Aceng nga ye mwogezi wa poliisi e Karamoja akakAsizza okukwatibwa kwabano n’ategeeza nga bwebatataganya eddembe ly’abafu.
Agambye basobodde okukwata bano oluvanyuma lw’okutemezebwako abatuuze abaabalabye nga basimula ebijja.