Skip to content Skip to footer

Omusubuzi bagenda kumuziika

Bya Ritah Kemigisa

Omusubuzi womu-Kampala eyakubibwa amasasi agamutta omukuumi wekitongole kya Saracen, Arnold Mugisha agenda kuzikibwa olwaleero mu district ye Ntungamo.

Mugisha ono yattibwa Moses Angoria oluvanyuma lw’oluyombo, lwebafuna ku Quality shopping village, e Naalya ku ntandikwa ya wiiki eno.

Wabula taata womugenzi Plan Mugisha, yye okufa kwa mutabani we yakitadde ku njawukana mu mawanga, nobusosoze.

Omukuumi yavunaniddwa omusango gwobutemu olunnaku lwe ggulo, mu kooti ento e Kiira.

Wabula bbo abekitongole kya Saracen Angoria gyabadde akolera, beyamye okwongera okukola emirmu gyabwe okukuuma mu mateeka nokussa ekitiibw amu bantu.

Leave a comment

0.0/5