Bya Ivan Ssenabulya
Ababaka abatuula ku kabondo ka palamenti akabava mu Buganda, beyamye okulwanyisa ensonga yekibba ttaka nebizibu ebiralaa ebyeyongedde mu kitundu kino.
Ababaka abava mu Buganda 109 olunnaku lweggulo balonze obukulembeze bwabwe obugya, wabula wakati mu butakanya n’okusika omugwa.
Omubaka we Butambula owa NUP Muhamadh Muwanga Kivumbi, yeyalondeddwa kubwa ssentebbe nga wakumyukibwa munna DP omubaka wa Buikwe South Dr. Lulume Bayiga, songa ababaka ba NRM 49 bazize okulonda kuno waddenga babaddewo.
Aba NRM nga bakulembeddwamu omubaka we Kiboga Keefa Kiwanuka babadde bawakanya engeri okulonda kuno gyekwategekeddwamu.
Kati aba NUP bafunye ebiwerako ku lukiiko luno era nebawera okuteeka ku mwanjo ensonga ezirumna abantu ba Buganda.