Bya Musasi Waffe
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni olwaleero asubirwa okwetaba ku mukolo ogwokulayiza Rebbeca Kadaga ngomumyuka wa Ssabaminisita we’gwanga asooka.
Ku mukolo guno ne minisita owensonga zomukago gwa East African Community waakulayizbwa.
Bino webijidde ng aba minisita abalala, balayizddwa ku mukolo ogwabadde ku kisaawe e Kololo ku Bbalaza.
Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze we’gwanga kubyamwulire Linda Nabusaayi omukolo guno gugenda kubeera mu maka gobwa pulezidenti e Nakasero.
Kinajjukirwa nti Kadaga yawangulwa ku kifo kya sipiika wa palamenti, ekibiina bwekyasalwo okuwagira Jacob Oulanya, wabula yalondebwa yoomu kuba minisita abalondebwa.