Bya Benjamin Jumbe
Abali mu kisaawe kyebyobulambuzi bagasse ku basubuzi wansi wa KACITA, okukungubagira abadde ssentebbe waabwe Everest Kayondo.
Kayondo era yaliko ssentebbe wa Association of Uganda Tour operators (AUTO) wabula yafudde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe olunnaku lweggulo.
Bwabadde ayogerako naffe, Herbert Byaruhanga memba wa booda ku lukiiko oluddukanya AUTO agambye nti ddala bafiriddwa omuntu atazikewo.
Agambye nti ono abadde ku mwanjo nyo okwogerera, n’okutakabanira eddembe lyabakwatibwako ensonga mu byobulambuzi naddala amakampuni sekinoomu.