Bya Sam Ssebuliba
Poliisi ekakasizza nti abantu 27 bokka bebakwatiddwa mu kivvulu kya Bobi Wine ekya Kyarenga mu gandaalo erya sabiiti.
Amawulire gempapula agamu gabadde gawandiise nti abantu 80-90 bebakwatiddwa, nga benyigira mu bumenyi bwamateeka.
Luke Owoyesigyire ategezezza nti bano babadde benygira mu kunyakula mu amasimu, ensawo zabantu, okunywa enjaga nebiralala.
Ono agambye nti abakwate bakumibwa ku poliisi ye Katwe, okubasunsulamu abalala bakutwalibwa mu kooti.