Skip to content Skip to footer

Abayizi 10 bafiridde mu muliro e Rakai

Bya Ambros Musasizi

Entiisa ebutikidde essomero lya St Benards Mannya mu gombolola y’e Kifamba mu disitulikiti ye Rakai e Kooki, omuliro bwegukutte ekisulo ky’abayizi, nga kigambibwa nti abayizi 10 bebakakasidwa nti bafiridde mu njega eno.

Omuliro guno gukutte essaawa nga 7 mu ekiro ekikeesezza olwaleero nga kigambibwa nti eyakumye omuliro guno yasoose kusibira bayizi mu kisulo olwo nagukuma ngabayizi tebalina webaddukira.

Addumira poliisi mu kitundu kino Ben Nuwamanya ategeezezza nga bwebasobodde okufuna ambulance nedduse abayizi abalumiziddwa mu ddwaliro e Masaka wabulang nomuwendo gwabayizi abalumiziddwa gusubirwa okulinnya.

Essomero lino lyogerwako nti lyerimu ku gabadde gakola obulungi mu disitulikiti ye Rakai ne Kyotera.

Leave a comment

0.0/5