Bya Ruth Anderah
Eyaliko akulira UBC Paul Kihika nate azeemu nasindikibwa ku alimanda e Luzira, nga ono alangibwa gwakuwa police mawulire makyamu.
Kinajukirwa nt ku lunaku lwa Monday sabiiti eyo ewedde yakirizibwa okw’eyimirirwa okuva mu kooti ewozesa abalyake,kyoka nazibwaayo e Luzira kubanga yali akyalina omusango ogw’okuwa police amawulire amakyanyu, era nga leeroo guno gwabadde awerenemba nagwo mu maaso g’omulamuzi wa kooti ento Christine Nantege.
Wabula ono omusango ono agwegaanye bwatyo omulamuzi namulagirwa azibweyo e Luzira okutuusa nga 15th/August 2017 kubanga tabadde na bajulizi.
Obujulizi obuleeteddwa bulaze nga ono bweyaluzimibwa bweyalumiriza omuserkale wa police ya Jinja road Emmanuel Mbonimpa nti yabba esimuye, kyoka oluvanyuma nekizuuka nti esimu bagimujako kuzuula bujulizi mumusango gwobulyake ogumuvunanibwa