BUKOMANSIMBI
Bya Malikih Fahad
Police e Butenga wano mu Bukomansimbi ekutte abasomesa 7 nga bano ebalanze kugezaako kukunga baana ba somero nebagenda balumbe banabwe.
Abakwatidwa basomesa ba Efukanensi Memorial Primary school erisangibwa kku kyalo Kisiita
Abakwatidwa kuliko Innocent Mitanda akulira essomero lino, Robert Mudenya, Steven Kiyimba ,Javira Kawooya nabalala nga bano kigambibwa nti bano baakunze abaana be simero lyabwe okulumbagana aba Butenga church of Uganda primary school babakube nga babalanga kubawangula mu mupiira gwebabade nagwo
Ben Osiende nga ono yakola ku byokunoonyereza kku misango mu kitundu kino agambye nti bano akadde konna bagenda mu kooti.