Bya Ruth Anderah
Omu kubasajja 24 abavunaibwa ogwokutte eyali ayogerera police Andre Felix Kaweesi bwazeeu okulumiriza police nga bweyatulugunyizibwa mu kaduukulu ka police.
Bano amakya ga leero nate bazeemu nebalabikako mu maaso gomulamuzi wa kooti eno e Nakwa Noah Ssajabi owonmgera okumanya okunoonyereza ku musango gwabwe w’ekutuuse
Tutegeezeddwa nti omu kubavunanwa Gibril Kalyango ategeezeza omulamuzi nti nga ali mu komera waliwo omusserikale eyamukaka okuteeka omukono ku kiwandiiko , kyoka olwokuba byali byampaka teyamanya makulu gaakyo
Wabula omulamuzi asabye Kalyango ono okugura nga akakana kubanga zino ensona wakufuna akadde azitegeeza kooti enkulu bwanaaba atuuseyo
Kino tekimalidde kalyango , agenza mu maaso nasaba omulamuuzi ategeezebwe abantube gyebali, nga kuno kwekulu nomwana owemyezi omwenda gwagamba nti ppolice yamukwata
Kati bano omulamuzi azeemu okubasindika e okutuusa nga August 24th.