
Okukyala kwa paapa mukisa eri eggwanga.
Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti paapa mutume wa Katonda era nga yyo kkanisa netegefu okumwaniriza.
Ng’awayaamu ne bannamawulire , owek. Stanley Ntagali agambye nti okukyaala kwa paapa kwakuyamba okunyweeza obumu mu bakkiriza.
Asabye abantu okufuba okulaba nti batuuka ku kiggwa ky’abakulisitaayo ku ssaawa bbiri kitundu ku lw’omukaaga bwebaba nga bakulaba ku paapa.
Ntagali abadde alangirira olukiiko lw’abavubuka olutandika nga 9 okutuuka nga 14th December ng’abavubuka abasoba mu 5000 beebagenda okulwetabamu.