Bya Shahim Nateebwa
Ministry yeby’obulamu ekakasizza okubalukawo kwerirwadde kya Mulangira mu gwanga, nga kisensede divison 5 eza Kampala, ne distrct ye Wakiso.
Mukiwandiiko ekiwerezeddwa Professor Anthony Mbonye akulira eby’obujanjabi ebisokerwako mu ministry yebyobulamu, abantu 67 bebakazuribwa n’ekirwadde kino nga ku bano 7 bakebeddwa nebakasibwa nti balwadde.
Kinajukirwa nti obulwadde buno okusinga bukosa nnyo abaana abali wansi womwaka ogumu.
Kati ministry esabye abantu abali mu bitundu bino okusigala nga bakakamu, ngabakugu bwekola ekisoboka okutangira obulwadde buno.