
Poliisi ye Masaka eri ku muyiggo gw’omukazi agambibwa okusindikira munne laddu n’emukuba n’emutta nga agenze okumubanja 5000.
Gertrude Nanyanzi omutuuze ku kyalo Nakitokoro mu gombolola ye Bukakkata y’awenjezebwa ku bigambibwa nti y’asse munne Zaina Kantaro 23, lwa 5000.
Poliisi egamba nti ebiriwo biraga nga Kantaro bweyafiiridde mu maka ga Nanyanzi gyeyabadde agenze okukima balansi we ow’enkumi 5000 oluvanyuma lw’okumuguza embaata 3 ku mitwalo 35000.
Abatuuze bagamba nti Kantaro yakubiddwa laddu n’akalirawo nga teri kulonzalonza Nanyanzi yeyamuloze.
Bewunya nti ekire ky’enkuba kyayiise amangu ago n’ekyaddiridde laddu nekuba munaabwe ate ye Nnanyanzi n’abinyika mu nsuwa.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi agamba bakyayigga Nanyanzi nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.