Skip to content Skip to footer

Mbabazi asooke ateese ne NRM – kakiiko akalondesa

 

Mbabazi smiles 2Enteekateeka z’eyali ssabaminisita w’eggwanga  Amama Mbabazi okutandika okwebuuza ku balonzi nga yetegekera okwesimbawo ku bwa pulezidenti kuli mu lusuubo.

Akakiiko k’ebyokulonda kamusabye enteekateekaye agikwasaganye n’eyekibiina kye nga tanatandika kutalaaga ggwanga okwebuuza.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda  Eng Badru Kiggundu agamba baafunye ebbaluwa okuva eri ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM nga besamula enteekateeka za Mbabazi nge bwezitali za kibiina kyabwe.

Mu bbaluwa eri akakiiko k’ebyokulonda, bannamateeka ba Mbabazi bakinoganya bulungi nga Mbabazi bw’agenda okwebuuza ku balonzi nga ayagala okuvuganya anakwatira NRM bendera ku bwa pulezidenti.

Mbabazi  y’afulumya dda enteekateeka ze ez’okwebuuza ku balonzi okuva nga 9 omwezi ogujja nga atandikira Mbale, Soroti ne  Moroto.

Ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Justine Lumumba Kasule agamba  okwebuuza Mbabazi kwagendako tekuwagiddwa kibiina kya NRM.

Leave a comment

0.0/5