Enteekateeka z’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi okutandika okwebuuza ku balonzi nga yetegekera okwesimbawo ku bwa pulezidenti kuli mu lusuubo.
Akakiiko k’ebyokulonda kamusabye enteekateekaye agikwasaganye n’eyekibiina kye nga tanatandika kutalaaga ggwanga okwebuuza.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu agamba baafunye ebbaluwa okuva eri ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM nga besamula enteekateeka za Mbabazi nge bwezitali za kibiina kyabwe.
Mu bbaluwa…