Ab’ettendekero ly’emakerere bakakasizza nga abayizi bonna ababanja ensimbi zabwe ez’okwegezaamu ezimanyiddwa nga Internship fees bwebagenda okuzifuna olwaleero nga terunaggwako.
Wiiki ewedde ebikumin’ebikumi by’abayizi b’emakerere bekalakaasa lwakulwawo kubawa ssente zabwe.
Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango agamba basigazzaayo abayizi nga 100 bokka abalina obuzibu ku akawunti zaabwe wabula nga nabo babakolako basasulwe.
Buli muyizi alina okufuna 380, 000