
Kampala Capital City Authority kyaddaaki evuddeyo ku byokulwawo okusasula omusaala gw’abasomesa n’etegeeza nga bbo bwebatalina buvunanayizibwa kusasula musaala gwonna wabula okwongera ku nsako y’abasomesa.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba emisaala gisasulibwa minisitule ekwatibwako.
Kalumba agamba nti bbo aba KCCA buli nga 20 buli mwezi basindika ssewnte ku akawunti z’abasomesa bano nga era bwewabaawo okulwawo bategezebwa mu budde.
Abasomea mu Kampala, Iganga ne Arua tebanafuna misaala gyabwe egy’omwezi ogwokutaano ekikosezza enyo emirimu gyabwe.