
Libadde ssanyu gyerere ku kkooti e Masaka okuva eri abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amaama Mbabazi oluvanyuma lwabanaabwe 3 okuyimbulwa.
Moses Kasozi, 32, Charles Ssebadawo, 27,ne Charles Higiro, 37, baakwatibwa nga 8th June ku bigambibwa nti baali bagaba ebipande bya Mbabazi nga bakuba kampeyini nga obudde obugere tebunatuuka .
Abasatu bano baasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Masaka oluvanyuma lw’okulemererwa okuwaayo emitwalo 25 buli omu okweyimirirwa.
Oluvanyuma lw’okufuna ssente zino omulamuzi Ann Komuhangi asazeewo bano beyimirirwe.
Omukwanaganya w’abawagizi ba Mbabazi e Masaka Robert Kizito agamba bbo baakugenda mu maaso n’okulwanirira eddembe lyabwe.
Abasatu bano bakudda mu kkooti nga 8th July 2015 .