Skip to content Skip to footer

Abalwadde ba fisitula beetaga buyambi

Bya Prossy Kisakye

Omubaka wa Italy mu Uganda Dominico Fornara akubiriza abantu okwongera okuyamba abawala n’abakazi abatawanyiziddwa embeera ya Fisitula kubanga esobola okwewalika era n’okuwona singa omuntu ayambibwa nga bukyali.

omubaka wa Italy mu Uganda Dominico Fornara okwogera bino abadde akyaliddeko ekibiina ky’abakyala abatabakanira eddembe lyabo abali mu mbeera eno ki Women at Work International, nategeeza nga webalina okuyamba abakyala abali mu mbeera eno.

Ye akulira ekibiina kino Halima Namakula agamba nti beetaga okwongera okuzimba ebifo omutekebwa abawala ababa bayise mu mbeera eno.

Mu kino bagenda kuba nga babiteeka mu disitulikiti eziwerako mu ggwanga naddala ezo ezisinga okubeeramu abaana abawala abafuna embuto nga bakyali bato.

Leave a comment

0.0/5