Skip to content Skip to footer

Omusajja enyama emutuze nafa

Bya Prosy Kisakye

Poliisi e Kabale etandise okunonyereza kungeri omusajja ow’emyaka 36 enyama gyeyamutuze natuuka okufa.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Matte, agambye nti omugenzi ye Bernard Macumu ngabadde mutuuze we Rwakaraba mu munispaali ye Kabale.

Omugenzi kigambibwa nti yabadde ku kabaga ka mukwano gwe Twinomujuni John Bosco, namira ekifi kye nyama eyemutuze, nerumalamu amazzi.

Poliisi yyo egamba nti yakugenda mu maaso nokunonyereza kwayo okuzuula ekituufu ddala ekyamusse.

Leave a comment

0.0/5