
Poliisi eyimirizza enteekateeka z’eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okutuuka enkiiko ezebuuza ku bantu ku nteekateeka ze ez’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti Mbabazi teyalaze oba ayagala kwesimbawo ku lwa NRM oba ku lulwe
Kaihura era akubye ebituli mu bbaluwa ya ssabawolereza wa gavumenti kko n’akakiiko akalondesa
Ono agambye nti tasobola kukkiriza Mbabazi kugenda mu bantu nga tebatagedde ani gw’akiikiridde
Kaihura ky’ayagala Mbabazi okwogera kyekibiina mw’agwa olwo poliisi emanye ky’emukolera.
Poliisi egambye nti tesobola kuwa Mbabazi bukuumi kubanga aba NRM ssi beebamusindise