Okuwulira omusango oguvunaanibwa abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu mu kibuga kukyagenda mu maaso
Omusajja agambibwa okutegeka olukwe lwonna olw’atta abantu Issa Luyima alabiseeko mu kkooti neyegaana ebimu ku biri mu kiwandiiko kyeyasooka okukola ng’akkiriza okuzza emisango.
Luyima ategeezezza kkooti nti yakakakib aafande gw’ayise Namara okukkiriza emisango nti era bweyali ku kitebe ky’ekitongole ekirwanyisa obutujju, bamusikayo olulimi nebatandika okumufumitako empiso era olw’obulumi n’akkiriza buli kyeyategeeza omulamuzi Francis Kobusheshe.
Luyima agambye nti bamutulugunya okuviira ddala ku mwaalo gwe Mombasa okutuukira ddala e Kampala.
Ono agambye nti bamulagira okukkiriza emisango ng’asonga ku balala basobole okumusonyiwa era naye n’akkiriza
Mu bbaluwa Luyima gyeyawandiika n’omulamuzi yakkiriza nti yeetaba mu kutta abantu 76 era n’akkiriza okubeera memba wa Alshabab nga bino byonna abyegaanye.