Abasomesa ababiri ab’essomero lya Acorn international school Bukoto basingisiddwa omusango gw’okulagajjalira omwana era gyebyakkira ng’agudde mu kidiba ekiwugirwaamu n’afa
Omwana ayogerwaako wa myaka ebiri n’ekitundu Sunshine Baraza era nga yafa ku lunaku lwe olw’okuna ng’asoma
Bino byagwaawo nga 3 omwezi gw’omwenda mu mwaka 2012
Omulamuzi wa kkooti ya Cityhall Moses Nabende agambye nti abasomesa bano okuli Deborah Akado ne Florence Awori baalina okulabirira omwana ono kyokka nebamulekerera era okukkakkana ng’agudde mu mazzi.
Wabula omusomesa ow’okusatu Hassam Magogo alina okuwugisa abaana yejjereddwa kubanga olunaku olwo teyalina kubeera ku ssomero.
Abasingisiddwa omusango bakusalirwa ekibonerezo olunaku lw’enkya