Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda asabye poliisi mu bwangu okukola ku ba bodaboda olw’obubenje obususse
Kiddiridde okufa kw’omwana Jude Mukisa owa Buganda road primary eyafudde oluvanyuma boda kweyabadde okukoonwa owa kiroole n’afiirawo.
Rugunda agambye nti aba boda basusse obusamaavu nga tebagoberera mateeka ga ku nguudo ate nga ne poliisi terina ky’ekola etunula
Bw’abuuziddwa omubaka we Nyabushozi Fred Mugyenyi oba gavumenti esobola okuwa abayizi mu masomero gaayo entambula, Rugunda agambye nti kino kizibu nnyo eri gavumenti ng’abazadde beebalina okufuba okulaba nti abaana baabwe batuuka bulungi ku masomero.