File Photo : Mbabazi nga yogeera
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi aweze okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olw’e Jinja.
Kiddiridde omuwandiisi wa distulikiti okuyisa ekiragiro ekiyimiriza olukungaana lw’alina okukuba e Kakindu.
Ono agamba ekisaawe ky’e Kakindu poliisi yakyesooka okutendekeramu abaserikale baayo sso nga ewalala mu kitundu kye Kazimingi abatuuze abaliranyewo tebagala kubatataganya.
Poliisi eweze okulinya eggere mu nkungaana zonna…
