
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi aweze okugenda mu maaso n’olukungaana lwe olw’e Jinja.
Kiddiridde omuwandiisi wa distulikiti okuyisa ekiragiro ekiyimiriza olukungaana lw’alina okukuba e Kakindu.
Ono agamba ekisaawe ky’e Kakindu poliisi yakyesooka okutendekeramu abaserikale baayo sso nga ewalala mu kitundu kye Kazimingi abatuuze abaliranyewo tebagala kubatataganya.
Poliisi eweze okulinya eggere mu nkungaana zonna ezitegekeddwa abesimbyewo ku bwapulezidenti bweziba zimenya amateeka.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi yadde bazze bamulabula akyamenya akawayiro namba 3 mu mateeka agafuga eby’okulonda olw’enkungaana zakuba.
Agamba poliisi y’erina obuvunanyizibwa ku nkungaana okuli n’ezokwebuuza ku balonzi kale nga amateeka g’ebyokulonda galina okugobererwa.
Nga okusunsula abaagala akamyufu k’omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance kukomekerezebwa,abakulira omukago olwaleero bayise olukiiko olwamangu okuteesa ku kyokwongezaayo ennaku z’okusunsula.
Okusinziira ku nsonda munda mu mukago, baagala kulaba nga bongerayo eyali ssabaminisita Amama Mbabazi akadde asobole okusunsulibwa omukago guno.
Olunaku olw’eggulo Mbabazi nga ayita mu munnamateekawe Severino Twinobusigye y’awaddeyo enongosereza z’ayagala mu mukago guno ezigenda okutesebwako olwaleero.
Ku zimu ku nongosereza Mbaabzi z’ayagala kwekwongezaawo ekiseera ky’okulonderako anabakwatira bandera ne wiiki nanamba.