
Ab’enkambi y’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bafulumizza ekiwandiiko ekiraga nga bwewaliwo olukwe lw’okutta omuntu waabwe.
Ekiwandiiko kino kifulumiziddwa munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema n’akulira ebyamawulire Josephine Nkangi era bategeezezza nga bwewaliwo abayaaye abefudde abaziyiza emisango ba crime preventers abaliwo okugotanya enkungaana za Mbabazi n’okumutusaako obulabe.
Kati bano basabye poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe okutukiriza obuvunanyizibwa bwabwe obw’okukuuma Mbabazi nga munnayuganda yenna omulala.
Wabula bakinoganyizza nga Mbabazi bwali owokugenda mu maaso n’ekwebuuza ku balonzi mu mirembe mu kibuga Jinja n’ebifo ebirala byabalina mu ntekateka zaabwe kubanga amateeka gabawa ekyanya.