Bya Ndaye Moses.
Ebibiina by’obwanakyeewa bisabye government okwanguwa okuzimba ebyuma ebirara ebijanjaba kookolo okusobola okukendeeza ku kirwadde kya kokolo ekimazeewo bannayuganda.
Ebiwandiiko ebiva e Mulago biraga nga abantu abasoba mu 5000 bwebalwala kokolo , wabula nga 400 kubano baana.
Twogedeko n’akulira ekibiina ekya cancer charity Foundation Albert Tusiime nagamba nti edwaliro lino elya Mulago teriyinza kusobola kukola ku balwadde bano, kale nga twetagayo edwaliro e dala.