
Abatuuze mu ggwanga lya Japan emitima gibewanise oluvanyuma lw’amataba okukwata olunaku olwokubiri nga gagoya ebitundu ebyenjawulo olw’omuyaga gwa Typhoon Etau okuddamu okukunta.
Gavumenti kati eragidde abali mu bitundu omuli amataba okwamuka amaka gaabwe olw’okutya nti essaawa yonna ettaka lyakubumbulukuka.
Omuntu omu y’akyabuze oluvanyuma lw’okwerebwa amataba gano.
Bbo abantu 15 balumiziddwa nga okusinga bakadde bebaluguddemu.
Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Ibaraki ne Tochigi .