Bya Magembe sabbiiti
Abatuuze mu gombolola ye Kigando mu mu district ye Mubende abakosebwa ekyeya gyebuvudeko bakukulumidde gov’t olw’okulemererwa okubadukirira ne mmere bagamba gyebawulira ezze egabibwa mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.
Egombolola ya Kigando yemu ku bitundu ebyasinga okukosebwa ekyeya
mu district ye Mubende nga nebisolo byafa olwe bbula lya mazzi
ate enkuba oluvanyuma yatonya n’omuzira ogwamanyi ekyavirako ebirime
okwononeka.
Bino webijidde nga gavuenti yabawaddeyo ku muceere, wabula ssentebe w’egombolola eno Aron Muzoola agaamba nti gavumenti yabawadde Kiro zo’mucere 1200 zagamba nti tezirina kyezigenda
kugasa bantu, nti ntono nnyo.