Bya Ritah Kemigisa
Waliwo ekiwayi ky’abavuzi ba Taxi wansi ekya Uganda Transport Development Agency ekikulemberwamu Mustapha Mayambala ekitiisizza okwekalakaasa owalaleero.
Bano bemulugunya ku ky’okulwawo okulonda obukulembeze, aba KCCA okubakwasa ekifuba sso nga balina n’ensimbi zebemulugunyako nti nyingi.
Wabula bbo ab’ekiwayi ekikulembera Yassin Sematimba ekya Kampala Operational Taxi Stages Association a bagamba bbo tebabiliimu nga era baayise dda poliisi mu bifo okuli Wakaliga ne Busega okwewala akavuyo konna.