Skip to content Skip to footer

Ebye Nalufenya tebinaggwa

 

Minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga eteereddwa ku ninga okuvaayo enyonyole embeera y’akaduukulu ka poliisi ke Nalufenya bangi kebatandise okuyita akattiro.

Ab’ekibiina ekibudabuda  ababa batulugunyiziddwa  ekya African Centre for treatment and rehabilitation of Torture Victims bebongedde okutabukira gavumenti oluvanyuma lw’abantu abenjawulo okuvaayo nebemulugunya ku bakwate abagambibwa  batulugunyizibwa.

Akulira entambuza y’emirimu ku kibina kino Esther Nabwire  agamba nti benyamivu okulaba nga abasibe bangi bali e Nalufenya okusukka mu ssaawa 48 ez’essalira nga tebatwalibwanga mu kkooti kale nga kuno kulinyirira dembe lyabwe ery’obuntu.

Abasinga okutwalibwa e Nalufenya beebo abavunaanibwa emisango gy’obutujju, okuyamba ku butujju, okubbisa emmundu n’emisango emirala egyanaggomola.

Olunaku lwenkya palamenti yakwongera okukubaganya ebirowoozo ku kiwandiiko ekyaweebwayo minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga ku nsonga yeemu.

 

 

Leave a comment

0.0/5