
Gavumenti ebakanye ne kawefube w’okusomesa obubinja bw’abavubuka okwewala okukozesebwa banmnabyabufuzi okwetaba mu kwekalakaasa okutatadde.
Ssabawandiisi w’ekisinde ky’abavubuka ekya Zabike Empiira Isaac senabulya agamba gavumenti kati etunulidde abo abetabye mu bikolwa by’efujjo nga okulonda kwakaggwa.
Agamba ekyetagisa ye gavumenti okufuba okulaba nga abavubuka bafuna emirimu bave mu by’okwekalakaasa naddala abatalina mirimu.