Skip to content Skip to footer

Abayuza ebipande baakukwatibwa

Akulira eby’okulonda e Mpigi Flavia Mujulizi alabudde abawagizi b’abamu ku beesimbyewo abagenda batungula amaaso n’okutimbulayo ebifaananyi by’abalala nga bw’agenda okubasiba ng’akolaganira wamu ne poliisi.

Okwogera bino, abadde ku kitebe ky’akakiiko kano e Mpigi mw’asisinkanidde bonna abeesimbyewo n’ababanonyeza obululu.

Kino wekigyidde, nga effujjo lifumbekedde ebitundu ebya Mawokota ey’amaserengeta, abawagizi ba Kiyingi Bbosa n’aba Lubyayi John Bosco, buli omu akkira ebifaananyi by’omulala nebabiyuzaayuza.

Flavia era asabye abeesimbyewo buli omu okusooka okutondawo emisomo eri abawagizi be ku butya bwebalina okulagamu obuwagizi ate mu mateeka n’oluvanyuma batandike okuwenja obululu.

Leave a comment

0.0/5