Poliisi kyaddaaki ezudde munnakibiina kya FDC eyabula kati ennaku ttaano.
Ivan Masembe nga yesimbyewo okukiikirira abantu be Nakaseeke North mu palamenti yabuzibwaawo nga yakamala okuwandiisibwa .
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savvannah Lamarck Kigozi agambye nti maama wa Masembe yeeyabakubidde essimu nti omusajja ono yabadde asuuliddwa kumpi n’amaka ga kitaawe
Kigozi agambye nti omusajja ono amaze okukola sitatimenti nga bakumutwala ne mu ddwaliro yekebejjebwe