Poliisi e Kibuku ekutte abantu babiri ku kuttibwa kw’omu poliisi.
Ismail Mangusho yabaddde agenze kukwata muzzi wa misango kyokka mu kudda, abantu abatannaba kutegerekeka nebamukuba ejjinja n’oluvanyuma nebakwata emmundu ye nebamukuba amasasi.
Aduumira poliisi ye Bukedi Andrew Kaggwa ategeezezza nti ababiri abakwatiddwa bakuyambako mu kunonyereza.
Bano bakuggulwaako misango gya butemu.