
Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olwa nga 3rd omwezi w’okusatu omwaka ogujja okuwuliriza emisango egyakalebule egivunaanibwa munna FDC Dr Kiiza Besigye
Kiddiridde Besigye okulemererwa okutegeragana ne munnamaggye Col . Ndawula Atwooki.
Besigye yategeeza mu mwaka gwa 2012 nti Col Ndawula yeeyatta omuwagizi we Johnson Baronda e Rukungiri era mu kumusiima nebamukuza
Besigye ne Col Ndawula babadde bagezaako okumalirira ensonga wabweru wa kooti kyokka nga bigaanye nga kati omulamuzi asazeewo omusango guwulirwe mu mwezi gw’okusatu.