
Poliisi ye Masaka eweze emmotoka zonna okutikkira, okusimba wamu n’okutikkulira abasaabaze ku masundiro g’amafuta.
Aduumira poliisi y’ebidduka e Masaka Wilfred Byamugisha y’awadde okulabula kuno n’ategeeza nga bwebafunye ebiragiro okuva ku kitebe kya poliisi e Kampala oluvanyuma lw’okulabulwa ku bikolwa by’ekitujju.
Agamba baawandikidde dda abakulira amasundiro g’amafuta gonna e Masaka okulaba nga ekilagiro kino kitandikirawo okukola.
Wabula abamu kino tekibakoze bulungi.
Ssentebe w’ekibiina ky’obwegassi ekyabananyini taxi e Masaka Ssentongo agamba abantu bangi tebalina webayinza kusuza mmotoka zaabwe mu budde bw’ekiro kale nga kino kyakubanyigiriza.