Ba ssentebe ba LC esookerwaako e Wakiso bazize obugaali obwabawereddwa gavumenti okutambuza emirimu gyaabwe nga bagamba nti tebubajaamu
Okutuuka ku kino kiddiridde, akulira abakozi e Wakiso, David Naluwayiro okubategeeza nti pulezidenti yabasuubizza nti ba ssentebe bonna bakufuna obugaali basobole okwanguyirwa ku mirimu.
Ba ssentebe bano nga bakulembedwamu Mukyala Specioza Wamala, kuva Ssabagabo Makindye, bagambye nti obugaali kati tebukyabasaana nga kati betaaga piki piki okusobola okutambuza obulungi emirimu.