Kkooti eganye Namwandu wa kasiiwukira nga ono ye Sarah Nabikolo okweyimirirwa.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Jane Elizabeth Alividza ategezezza nga abaleteddwa okweyimirira mukyala kasiiwukira bwebatabekakasa bulungi nga singa namwandu abulawo bayinza obutasobola kusasula nsimbi za kakalu ka kkooti.
Namwandu Nabikolo abadde eleese ousumba Francis Katongole okuva mu kanisa ya Christian Bible church nga omu ku bagenda okumweyimirira wabula omulamuzi n’ategeeza nga ono bwebatategeera bulungi gyajja ssente ze nga taleese nabbaluwa kuva ku kyalo ewali kanisa ye.
Namwandu kati addiziddwa ku alimanda e Luzira.