Ka bbomu akabalukidde okumpi n’ekkomera lye Gulu kalumizza abasibe babiri n’okukosa omwana ow’emyaka 15 abadde ayitawo
Bino bibadde ku kisaawe kya Kawunda nga kino kiriraanye ekkomera mu munucipaali ye Gulu
Abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro e Gulu okuyambibwa
AKabenje kano wekabeereddewo ng’abasibe bali mu kukima mazzi
Omukuumi mu kkampuni ya Exposs Security group Patrick Ayella, agambye nti bawulidde ekibwatuuka ekya maanyi era ekiddiridde kulaba bantu nga bali wansi basambagala