
Bya Ndaye Moses,
Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya NRM kasambaze ebigambibwa nti obuvuyo obweyorekera mu kamyufu ke kibiina bwebwavaako NRM obutafuna buwagizi bungi mu kulonda kwa bonna
Okusinzira ku sentebe wa kakiiko kano Dr. Tanga Odoi, abantu 2171 bebetaba mu kamyufu ke kibiina ku kifo kyobubaka bwa palamenti
501 kubbo bategeeza nti akamyufu kalimu vulugu era ne basalawo okwesimbawo kubwa nnamunigina wabula kubano 26 bokka bebawangudde mu kulonda kwa bonna.
Kati ebyokugamba nti vulugu eyali mu kamyufu yeyavirako ekibiina okubulwa obuwagizi si bituufu