Bya Ivan Ssenabulya,
Senkagale wekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi asabye abakulembeze abakalondebwa okuyita ku kaada ye kibiina kye okuba obumu
Ono agamba nti olugendo lwenkyukakyuka tanaluvako wabula nga kibetagisa okusigala obumu okulugusa
Kyagulanyi sabye abakulembeze okuzaamu abalonzi babwe amaanyi nga babaliisa enjiri eyenkyukakyuka
Bino abyogedde bwababadde asisinkanye abakulembeze abasoba mu 700 abawangula akalulu ku kaada ya NUP mu makage e Magere