Bya Benjamin Jumbe ne Juliet Nalwooga,
Omukulembeze weggwanga YK Museveni eranga ye ssabaddumizi weggye lye ggwanga erya UPDF akalatidde abakikirira amaggye mu palamenti abalondebwa olunaku olweggulo okuteeka essira kunsonga ssemasonga 7 eziri mu manifesto ya NRM
Muno mwemuli okukola enguudo, okutumbula ebyobulamu ne byenjigiriza, okwongeza emisaala gya bannasayansi ne birala.
Bino yabyogedde ayogerako eri akakiiko akatwala eggye lye ggwanga mu kulonda ababaka ba palamenti abakikirira amaggye wali e Bombo
Mu balondebwa kuliko Gen David Muhoozi, Gen Edward Katumba Wamala, Lt Gen Wilson Mbasu Mbadi ,Lt Gen Peter Elwelu, Lt Gen James Mugira, Maj Gen Henry Matsiko ne Maj Gen Sam Kavuma.
Ate abakyala kuliko Col Dr Victor Nekesa, Lt Col Charity Bainababo, ne Maj Dr Jennifer Alanyo.
ye Gen Elly Tumwine awanguddwa, ne banne abalala bwebabadde mu palamenti ngógyeko Gen Katumba Wamala.