Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya
Omubaka wa Omoro county mu palamenti Jacob Oulanya yawangudde obwa sipiika bwa palamenti mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11.
Ono afunye obululu 310, ate munne omubaka omukyala wa kamuli Rebecca Kadaga abadde muntebe eno afunye obululu 197 ate omubaka wa Kira municipaali Ssemujju Nganda afunye obululu 15.
Okulonda kukubiriziddwa ssabalamuzi weggwangaAlfonso Owinyi Dollo.
Ssabalamuzi ategezeza nti obululu bubiri bubadde bufu olwa balonzi okulonda amaanya abiri agabavuganya ate omulala alonze omuntu atesimbyewo.
Dollo alangiridde Oulanya kubuwanguzi
Oluvanyuma lwa Oulanya okuwangula wabadewo akavuvugano mu palamenti ababaka bwebatandise kwekyanga ababadde bawagira Kadaga nga bawakanya obuwanguzi bwa Oulanya.
Kino kivirideko amaggye okuyingira munsonga zino wabula omubaka wa kalungu west mu palamenti Joseph Ssewungu awakanyiza ekya maggye aga SFC okuyingirira palamenti era nasaba ssabalamuzi alagire gafulume palamenti.
Kino kiwaliriza nomuk weggwanga M7 okusituka akakanye embeera nalagira abasirikale bonna okwamuka awalonderwa