Bya Ritah Kemigisa
Okulonda kwa sipiika wa palamenti empya ey’omulundi ogwe 11, kutandise era kugenda mu maaso.
Abantu 3 bebavuddeyo okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti empya eyomulundi ogwe 11.
Kuno kuliko Rebecca Kadaga, Ssemuju Nganda ne Jacob Oulanya.
Bino biri mu lutuula olusokedde ddala, olugenda mu maaso ku kisaawe e Kololo, nga Ssabalamuzi we’gwanga Alfonso Owinyi Dollo, yakulembeddemu okulondesa.
Ono atandise n’okulagira kalaani wa palamenti okusoma amateeka, agagande okugobererwa, mu kulonda kuno.
Bright Rwamirama yaleese ekiteeso, nerinnya lya Jacob Oulanya nekiwagira omubaka wa Oyam South Betty Amongi.
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni naye yetabye mu lutuula luno.
Omubaka wa Makidye West, Allan Ssewanya yaleese erinnya lyomubaka wa munsipaali ye Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda naan aye avuganya ku kifo kino.
Abalala abavuganya, Stephen Kisa yaleese erinnya lya Rebecca Kadaga neriwagirwa Geoffrey Macho.