Skip to content Skip to footer

Aba FDC bagenda kuyita Kadaga abegatteko

Bya Juliet Nalwooga, Damalie Mukhaye ne Ritah Kemigisa

Banakyewa batenderezza abadde sipiika mu palamenti eyomulundi ogwe 10, Rebecca Kadaga olwemirimu gyakoledde egwanga ate basabye ne sipiika omugya okukola ennyo okulwanyisa abakiise abebulankanya nokwosa.

Olunnaku lweggulo owa NRM Jacob Oulanyah bamulonze kubwa sipiika mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11, ngono agenda kumyukibwa Anita Among.

Oulanyah yafunye obululu 310 namegga Kadaga, eyafunye 197 atenga owa FDC Semujju Nganda yafunye 15.

Kati ssenkulu wekitongole kya Legal Aid Service Providers Network (LASPNET) Sylvia Namubiru agambye nti Kadaga akozze nnyo okusimba ekifananyi kyabakyala nomukululo.

Kati asabye Oulanyah okuteeka ku bbali ensonga endala zonna ezekibiina naye akulembeze egwanga.

Yye Cissy Kagaba munnamateeka, nga yakulira Anti- Corruption Coalition Uganda (ACCU) asabye sipiika omugya nti asaanye okwewala okumala gayisa embalirirra eze nyongereza nokwewalanga eri gavumenti okutetagisa.

Mungeri yeemu, abakugu mu byobukulembeze, bagamba nti Kadaga asaanye okuyitibwa yeyanjule eri ekibiina okubitebya, olwokujemera ekibiina.

Kadaga, olukiiko lwekibiina olwa CEC bwerwamusuula yasalawo okuvuganya nga namunigina.

Bwabadde ayogerako naffe, Henry Muguzi okuva mu kitongole kya Alliance for Finance Monitoring agambye nti ekyakoleddwa Kadaga kyabadde kityoboola democrasiya.

Muguzi, agambye nti ono yalina okukiriza nti awanguddwa munda mu kibiina awagire Oulanya nokwewala okwabuluza mu kibiina.

Mungeri yeemu abatunulizi bensonga zebyobufuzi, bawabudde abadde sipiika Rebecca Kadaga nti alekulire ebyobufuzi.

Okuwabula kuno kukoleddwa Amb. Harold Achema, ngagambye nti Kadaga kyeyakoze kyabadde kikyamu okwawukana ku kusalawo kwekibiina atenga abadde awerezza emyaka 20.

Amuwadde amagezi gabuwa, nti ave mu byobufuzi atandike okukola emirimu gye nga munnamateeka.

Yye omusomesa we Makerere, Prof. Ndebesa Mwabutsya asabye Kadaga atondewo ekibiina kye okuvuganya Museveni mu mwaka gwa 2026.

Bino nga biri bityo, abamu ku bakungu ba gavumenti bazina gunteese, nga bajaguza okugwa kwa Rebecca Kadaga.

Bano bagamba nti kyabadde kikyamu okwawukana ku kusalawo kwekibiina, navuganya nga namunigina.

Abamu ku bajaguza okugwa kwa Kadaga, ye mwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ngagambye nti kyabadde kirina okumutukako olwokwefuula nampulira zzibi.

Ono agambye nti Kadaga asaanye okubeera ekyokulabirako ero abasigadde bakimanye nti ekibiina kyekisinga amaanyi.

Yye eyali akaulembera FDC Kizza Besigye yayise ku twitter nategeeza nti kya nnaku Kadaga, omu ku babadde abakulembeze mu bus ya NRM kati bamusindikiriza.

Ono agambye nti nekakoleddwa Museveni, okwediza obuyinza bwa Ssabalamuzi kyabadde kikyamu wakati mu kulonda nga kugenda mu maaso.

Ate akulira ekibiina kya FDC, Patrick Amuriat Oboi, agambye nti bagenda kumatiza Rebecca Kadaga abegatteko okusala ediiro okuva mu RM, abamuyisizza ngekyonziira.

Kadaga yawanguddwa Jacob Oulanya ku kifo kya sipiika, oluvanyuma lwekibiina okugaana okumusemba.

Kati Amuriat agambye nti ngekibiina bagenda kuwandikira Kadaga mu butongole nga bamwaniriza abegatteko.

Leave a comment

0.0/5